STORIES
Ku bakyala bona tekuli yafuna bulamu bwangu. Bawangula ebizibu ebimu. Bona bakola
n’amaanyi okusobola okumaliriza emisomo n’okufuna emirimu egy’omugaso. Abawala abasinga
bakuluusana mu masomero. Okusoma tekitera kubera kyangu. Obulamu busobola okukaluba.
Naye amagezi g’asobola okubera amaanyi ag’okukola ekilungi. Goberera eby’okulabirako
eby’abakazi bano okutuuka ku busobozi bwo mu bujjuvu ofuuke omukyala ow’enjawulo.
​
Beatrice Nyangoma
​
​
​
Beatrice Nyangoma yazalibwa mu disitulikiti y’e Kyegegwa
ebugwanjuba bwa Uganda. Beatrice weyawezza emyaka
kkumi na gumu, taata we naffa, nalekera maama we
abaana bataano n’omulala eyali agenda okuzalibwa.
Maama we yalina ebyali bimusoomooza bingi, jjaja
omusajja owa Beatrice n’ajja okubayambako awo n’amutwala ku ssomero okumpi n’e Kampala.
​
Beatrice yali ayagala okugenda ku ssomero era yakola bulungi. Mu kibiina eky’omusanvu, teyalina busobozi busasula bisale bya ssomero. Yakyusa nga nyo amasomero kubanga yali tasobola kusasula bisale by’amasomero. Olw’okuba Beatrice yali muyizi munyiikivu era ng’asoma nnyo, abasomesa bamukkiriza okusigala mu ssomero okumala ekiseera, lwakuba tekyabeeranga kiwanvu. Yasomera mu masomero mangi mu kaseera kekamu, ng’asoma ebintu eby’enjawulo ku buli ssomero.
​
Beatrice newankubadde yali mu ssomero, baganda be bona abassatu bafuna embuto nga bavubuse nebalekerawo okusoma. Mwannyina yekka gweyalina yaffa kokkolo atera okukwata abaana. Beatrice yamalirira okukola kyona ekyali kisoboka okukyusa olugero lw’amaka gabwe. Yakimanya nti mu kusoma mwemwali ekubo elyokukikola.
​
Newankubadde yalina okuzukuka ku makya ennyo ate akomewo ewaka ng’obudde buzibye, yali amanyi nti okusoma kwali kwa mugaso. Kyazibuwalira nnyo Beatrice okusoma nga talina byeyali yetaaga, ate nga y’alina okukola emirimu gy’ewaka era ngawulira nti tewaliwo muntu yenna yali ategeera ekyo kyeyali ayitamu. Wabula, obumalirivu bwe yalina, yasigala mu ssomero era nakola bulungi. Yeyongerayo n’afuna ddiguli y’ebyempuliziganya n’amawulire (mass communication) okuva mu yunivasite y’e Makerere.
​
Beatrice kati mu nnamawulire era akola ng’akulira eby’empuliziganya mu kitongole kya Coalition for Health Promotion and Social Development (HEPS-Uganda). Ekitongole kilwanirira obwenkanya mu nfuna y’eddagala eri ebibinja ebinafu mu Uganda. Ayagala kufuna ddiguli ey’okubiri eya (masters). Ayagala buli muwala okumanya nti asobola okumaliriza emisomo weyekilirizaamu, nga weyakola.
Dorcus Inzikuru
​
Dorcus yazalibwa mu Vurra, mu disitulikiti y’Arua. Taata we yali kabona
era bazadde be bombi balina ttalanta ey’okudduka. Balina abaana
munaana, era Dorcus yali mwana wabwe wakussatu. Ekyenaku,
bannyina be ababiri baafa nga bakyali bato. Awo Dorcus nafuuka
omwana omukulu mu maka.
​
Dorcus ayagala okudduka era yafuuka muddusi. Ab’enju ye tebalina
sente zigula ngatto ze zakuddukiramu, era yaddukira nga mu bigere ku
ssomero lye. Yasigala awangula. My 2003, yavuganya mu mizanyo gyaba kyotala ba Asiya era nawangula mukifo eky’okusatu! Kino kyali kyakabi, naye Dorcus teyamatira.
​
Emyaka ebbiri nga giyiseewo, Dorcus yavuganya mu mpaka z’amawanga gona nawangula omuddali gwa zaabu. Yakola ekyafaayo nga omudusi eyali akyasinze okudduka amangu! Yawangula sente, nazikozesa okuzimba enyumba okuyamba abaddusi abalala. Dorcus yasalawo okusooka okuwumulamu okudduka weyafuna omwana we eyasooka n’okubanga yali mulwadde okumala ebbanga. Wabula emyaka mitono nga giyiseewo, yaddamu
okudduka. Yadduka mu misinde emitono n’awangula awo nasalawo okuddayo okudduka mu misinde eminene.
​
Yakola nnyo era nadduka mangu nnyo nasobola okuyingira emizanyo gya olimpikisi!
Teyawangula, naye bwali buwanguzi okukikilira Uganda ku siteegi y’ensi zonna. Yasalawo okudduka mu misinde emiwanvu okusiinga emimpi. Teyakola kyafaayo kya Uganda nga weyali ayagala, naye yali akimanyi nti tekyalina buzibu kubanga yali yakola dda ebyafaayo era yali akola nnyo.
​
Weyamaliriza okuvuganya, yaddayo kussomero era nafuna ddiguli mu by’obusubuzi (Business Administration) okuva mu yunivasite y’e Ndejje. Ygamba nti kyamutwalira obudde, naye yali musanyufu obutalekerawo kusoma. Yawulira “essanyu lingi” ng’afuna ddiguli ye.
Eva Kabwongera
​
Mu kyaalo mu disitulikiti ya Hoima ebugwanjuba bwa Uganda,
omusawo Eva Kabwongera yazalibwa mu maka agajjude
okwagala n’abaana. Ekyenaku, taata wa Eva naafa ng’alina
emyaka mwenda, awo mwanyinaze we omukulu namukuza
n’ebagandabe abalala. Maama wabwe naye yakola kyona kyeyali
asobola okukola sente okubezaawo amaka, naye ebiseera
tebyabanguyira.
​
Wabula Eva, ng’amaliridde obutaggwamu maanyi, yasigala ng’agenda ku ssomero. Yamaliriza pulayimale ne sekendule era nassoma nyo. Yasobola okutuuka ku yunivasite, gyeyafuna ddiguli mu bujjanjabi n’okulongoosa(medicine and surgery). Oluvanyuma nakola masters mu bujjanjabi obwomunda (internal medicine) era nafuna dipuloma mu by’obulamu bw’abantu n’ebyensimbi. Ebisale bya muzibuwaliza okufuna eby’enjigiriza, wabula okusula nga n’abenganda ze mu yunivasite yonna, yasobola okukiwangula.
​
Olw’okuba atekka amaanyi mu byakola, afunye emirimu egy’omugaso era nayamba n’abantu abalala. Yakolerako mu ddwaliro ne mu kitongole ekye by’obulamu mu kugemesa abaana ng’akakasa nti abantu bafuna eddagala ly’ebetaaga okusigala nga balamu bulungi. Leero, akolera ekitongole kya UNICEF ((​The United Nations Children's Fund) mu kagguli k’okuwonya abaana ng’akola g’omuntu attunulirwa. Ayambye enkumi n’enkumi ez’abantu mu Uganda.
​
Eva kati alina abaana babbiri abakulu ababe. Eky’enakku, omwami we yaffa emyaka mingi egiyise, n’aleka Eva okulabirila abaana wadde nga ye muntu yekka eyasoma mu kiika kye, ng’alina n’omulimu ogumusasula obulungi. Kati alabirira ab’enganda ze bangi era atwala okubasasulira ebisale by’essomero ng’ekintu ekisinga obukulu, na ddala ku bawala. Eva ayagala okukubiriza abawala bonna okusigala mu ssomero. Singa mikwano gye, baganda be, n’abeÅ‹Å‹anda bakola we batyo, alowooza nti ekyaalo kyona kyandibadde bulungi. Yagamba, “Ekintu ekimu eky’omugaso abawala kye balina okumanya kyakusigala mu ssomero. Nga bakola kyonna ekisoboka.”
​
Jamila Lunkuse
Ku lunaku olusooka mu mwaka mu 1997, Jamila yazalibwa e’Mengo,
Uganda. Tewali yali akimanyi nti alifuuka omuwuzi alina ttalanta,
naye ekyo kyeyafuuka ng’akuze.
​
Weyali akyali muvubuka, Jamila ya gatta okuwuga n’okusoma weyafuna
sikaala ey’okweyongerayo okusoma mu Plymouth, essomero ely’ekisulo e’Bungereza, gye yawugira mu kibinja. Jamila agamba nti ekiseera kyeyamala e’Bungereza gy’emyaka egikyamusingidde okubeera egy’esanyu mu bulamu bwe. Yafuuka omuwuzi omulungi era n’omusomi asingawo. Empaka z’okuwuga wezakolebwa mu Zambia, Jamila n’awangula emiddali egya zaabu musanvu n’ogwa feeza gumu, ne likodi z’essawa ze yawugira! Yatongozebwa nga omuzanyi eyali asinze mu mwezi aba Rwenzori Uganda Sports Press Association kulwe bilungi byeyafuna. Yavuganya mu mizanyo gya olimpikisi wa 2012 mu London, England ne mu olimpikisi wa Rio de Janeiro, Brazil ng’akikkilira Uganda.
​
Nga kiwedde, Jamila yasalawo okweyongerayo n’emisomo kubanga yali amanyi omugaso gw’okusoma mwebyo byeyali afunye. Yasalawo okukyalira yunivasite ya Brighton okusoma eby’obusubuzi n’obutunzi era yakatikirwa.
Eva Baguma
Abazadde ba Eva Baguma bali babera ebungwanjuba
bwa Uganda, naye bagenda e’Kampala okusoma era
n’ebasalawo okusigalayo okukuza famile eyo. Maama
yakola ng’omusawo ate taata yakolanga omubazi w’ebitabo.
​
Eva yazalibwa ng’olutalo lwa mennunula olwa 1979
lwakatandika (olumanyikidwa nga olutalo lwa Kegera), okukyankala okwamanyi wakati wa Uganda ne Tazania ekyaletera olutalo lw’ensiko. Ng’akula, Yetololwa obulabe era yabeera nga mu kutya olw’entalo eza mwetololanga. Eky’omukisa, Kampala yali wala ekimala ku ntalo ezaliwo era Eva n’ebaganda be basobola okusigala nga basoma. Wabula, Waliwo emundu ezavugga nga kumpi n’ewabwe, ekyategeza nti essomero lye lyatera okuggalwa ennaku ezisiinga. Essomero lyafuuka ly’amugotteko era Eva yazibuwalirwa okusoma, naye teyagwaamu maanyo.
​
Yagenda ku yunivasite era nafuna ddiguli mu by’obulambuzi. Yakyuusa emirimu emirundi mingi nga tanafuna ogwo gweyali ayagala. Yafuna ddiguli ya masters era kati yakulira puroguramu eza Montrose ekola ku bukuumi bw’emmere mu Mambuka ga Uganda. Eva agamba abawala okumwenyumiriza mwekyo kyebali. Agamba nti abawala abakulu balina okukkiriza nti emibiri gyabwe gigenda ku kyuuka. Agamba nti tebalina kukkiriza kyuka
kyuka ezo kukosa emisomo gyabwe. Abawala balina okwekumira mu ssomero nga we bakula. Azaamu abawala amaanyi okusoma enyo era babuuze ebibuuzo bingi.
Emily Cheptoek
​
Mu disitulikiti ye Kapchworwa ebuvanjuba ga Uganda, Emily Cheptoek
yakuzibwa mu maka agagamba nti yali mwetowaze.
​
Emily yeyali asembayo obutto mu baana omusanvu era yassomera mu
ssomero ly’omukyaalo elya pulayimare. Ekyenaku, taata we yaffa nga Emily
ali mu kibiina eky’okutaano, naleka maama we ngali yekka n’abaana mu
ssomero. Maama we yakola emilimu mingi okusobola okuwerera abaana be.
Eky’essanyu, maama we yasobola okusasulira abaana be Ebisale.
​
Nga Emily amaliriza ekibiina eky’omukaaga, bamuteeka mu ssomero ly’obusawo okufuuka omuzalisa. Maama we teyalina busobozi busasula sente ndala ezali z’eyongeddeko. Awo Emily n’afumbirwa ng’omwami we asuubiza nti agenda kumusasulira ebisale by’essomero, nakitukkiriza. Emily yafuna okusoomoozebwa okukwasaganya obuvunanyizibwa bw’okubera omukyala n’omuyizi mu kisera kyekimu, naye yakola nnyo okusobola okukola obulungi ku njuyi zombie. Yamala nafuuka maama, wkifo eky’omugaso mu bulamu bwe ekyali kyetaaga obudde N’obumalirivu.
​
Omulimu gwe ogwasooka ku ddwaliro lya disitulikiti elyali okumpi n’ewaka. Yakolerayo emyaka mukaaga nga tanaba kuddayo ku ssomero kufuna ddiguli okufuuka omusawo. Ng’amaze okukola n’amaanyi, yafuuka omusawo omukulu mu kitongole ky’ebyobulamu mu Uganda ku ddala elya baddukanya ekitongole. Kati alina abaana bana. Okukwasaganya obulamu bw’amaka n’emisomo gye tekyali kyangu, naye yasobola okuwangula.
​
Emily ayagala abawala okumanya nti obulamu si bwangu era sibuserevu, naye tekilina buzibu. Ebizibu mu ssomero biyinza okutukawo, naye w’obikwata n’obugumikiiriza era ne wesamu ekitiibwa era ne wekkiriza, osobola okuwangula ebintu bingi.
​
Phiona Mutesi
Phiona Mutesi yazalibwa mu 1996 e’Katwe, ekitundu ekyalimu obwaavu e’Kampala.
Weyali akyali mutto nyo, taata we n’emuganda we ne baffa. Phionah n’alekera aw’okugenda ku
ssomero ng’alina emyaka mwenda kubanga ab’omumaka ge bali tebasobola kusasulira misomo
Gye.
​
Okuyamba okukola sente, yatunda kassoli ku katale akamuli okumpi. Ekiseera nga kiyiseewo, yatandika okuzanya akazanyo ka chess mu puroguramu y’okumala emisomo. Phiona yali mulungi mu kuzanya kyessi era yakyaggla nyo. Yatandika okuzanya emizanyo mingi era nawangula emizanyo egyali gisinga obuzibu. Okukola ennyo okwa Phiona kwamusobozesa okumennya likodi era nafuuka omuzanyi omututumufu eyali amanyikidwa wonna mu nsi olw’obumanyirivu n’obusobozi bweyalina.
​
Phiona yasalawo okuddayo ku ssomero kubanga yali amanyi nti kyali kyamugaso. Teyakkiriza bizibu byeyalina kumulemesa kusoma. Jjaja omukyala owa Phiona, maama n’ebanyinaze tebamaliriza kusoma, naye yasigala akola okusobola okumaliriza emisomo. Yasomerlera ekigezo kya pulayimale era n’eyeyongerayo mu sekendule ng’akyakola kyayagala, okuzanya kyessi. Bamuzanyamu n’akatambi ka firimu akayitibwa “The Queen of Katwe.”
Phiona yali akola bulungi mu kibiina n’emumuzanyo gwa kyessi, era n’agenda okulambula mu Amerika. Yakyalira yunivasite ya Northwest mu Washington ab’essomero gye bamuyita okweyongerayo n’emisomo gye nga bwazanya kyessi ku ssomero lyabwe. Phiona nagamba nti, “Iye!” Asomera eyo era akola bulungi. Agamba nti waliwo enaku okusoma wekwazibuwala, naye akyayagala okusigala ng’asoma kubanga kumuwadde eby’okulondako bingi okufuna ebiseera by’omumaso ebilungi. Wanamaliriza okusoma, ayagala kukomawo mu Uganda ayambe abantu be.
​